Nehemiah 11:3-4

3 aBano be bakungu b’amasaza abaasenga mu Yerusaalemi: Abayisirayiri abamu, nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, n’abaweereza ab’omu yeekaalu, ne bazzukulu ba baddu ba Sulemaani; buli omu yabeeranga ku ttaka lye mu kibanja kye. 4 bMu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n’abamu ku bantu abaava mu Benyamini.

Bazzukulu ba Yuda abaasenga eyo be bano:
Ataya mutabani wa Uzziya, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Sefatiya, muzzukulu wa Makalaleri, ow’omu lulyo lwa Pereezi;
Copyright information for LugEEEE